Proverbs 29:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugezi bw'awoza n'omusiru, omusiru yeenyiiza n'okwesesa; tewaba mirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru, omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, Omusiru ne bw'asunguwala oba ne bw'aseka, tewaba mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, omusiru asunguwala, oba asekereza, n'aleetawo okucankalana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu ow'amagezi bw'aba n'empaka n'omuntu omusirusiru, Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula.