Proverbs 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama akoma ku gw'ayagala, nga kitaawe w'omwana bw'akola omwana we gw'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala, nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama b'ayagala abakangavvula, ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.