Proverbs 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ga muwendo okukira amakula gonna, tewali kye weegomba kya muwendo kigenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo. Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagezi ga muwendo okusinga amayinja ag'omuwendo. Tewali kye weegomba, ky'oyinza kugeraageranya ku go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.