Proverbs 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagakutte gabafuukira muti gwa bulamu; beesiimye abagalina mu ngalo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuna amagezi, bafuna obulamu; abaganywereramu beesiimye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.