Proverbs 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Biryongera ku nnaku zo n'emyaka gy'obulamu bwo, ne bikuwa eddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga oliwangaala emyaka mingi, N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
lw'oliwangaala emyaka emingi, n'oba mu bulamu obw'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako.