Proverbs 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama alikuwa okuguma; alikuuma ekigere kyo kireme kukwatibwa mutego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama ye anaakukuumanga n'atakuleka kugwa mu kitimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa