Proverbs 3:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munno tomugambanga nti: “Genda, onodda; ndikuwa jjo,” sso ng'okirina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Togambanga muliraanwa wo nti, “ Genda okomewo, Nakuwa enkya,” Bw'obanga eky'okumuwa okirina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Togambanga muliraanwa wo nti: “Kati genda, okomewo enkya,” ng'osobola okumuyamba olwaleero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe.