Proverbs 3:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teweekoberanga munno kumukolera bubi, sso ng'atuula naawe ntende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ng’akwesiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totegekanga kukola munno kabi, Ng'ali naawe mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokolanga ntegeka kukola munno kabi ng'ali naawe mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe