Proverbs 3:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omukambwe takukwasanga buggya; tokwatanga na limu ku makubo ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bw’akola,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, Era tosalangawo kukola nga ye by'akola,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokwatirwanga buggya oyo anyigiriza abalala, era tosalangawo kukola nga ye by'akola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna.