Proverbs 3:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama yeenyinyala omuntu ayisa obubi; abayisa obulungi gye mikwano gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye abalongoofu abamanyisa ekyama kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama akyawa abakola ebibi, naye abalongoofu b'amanyisa ekyama kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu.