Proverbs 30:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliyo nno abavumirira bajjajjaabwe, n'abatasabira mukisa bannyaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo abo abakolimira bakitaabwe ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abantu abakolimira bakitaabwe, So tebasabira bannyaabwe mukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abakolimira bakitaabwe, era ne batasabira bannyaabwe mikisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa.