Proverbs 30:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliyo abo amannyo gaabwe nga bitala; amagego gaabwe, bwambe, okukavvula abaavu babamale ku nsi, n'abanaku babamale mu bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala, n’emba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, n’abo abali mu kwetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abakozesa obukambwe okunyuunyunta abaavu n'abateeyamba, bo beefunire ebibayimirizaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.