Proverbs 30:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekinoso kirina bawala baakyo babiri: bigamba “Mpa, mpa.” Waliwo bisatu ebitakkuta; bina ebitalikugamba nti: “Kimala”:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekinoso kirina bawala baakyo babiri abaleekaana nti, “Mpa! mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta, weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwegomba kumanyi ebigambo bibiri byokka: ekisooka, “Mpa” n'ekyokubiri, “Mpa.” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, ddala biri bina ebitamatira:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo: