Proverbs 30:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eriiso erinyooma omuzadde omusajja, n'eritafa ku kuyamba muzadde mukazi, binnamuŋŋoona by'omu kiwonvu biriritungulamu, obwana bw'ensega ne bulirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe, era n’atagondera nnyina, liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu, ne liriibwa ensega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, N'agooyo agaana okuwulira nnyina, Gasaanye gaggyibwemu bi Nnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, Era gabojjogolwe ensega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, oba ag'oyo agaana okuwulira nnyina, gasaanye gaggyibwemu binnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, era gabojjogolwe ensega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya.