Proverbs 30:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'okusunda amata bwe kuggyamu omuzigo, ng'okukaka ennyindo bwe kugireeta omusaayi, n'okusiikuula obusungu bwe kuleeta ennyombo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo, n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi, okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo nga bwe kuleeta omusaayi: N'okusitula obusungu, bwe kutyo kuleeta oluyombo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, n'okunyigiriza ennyindo nga bwe kugireeta omusaayi, bwe kutyo n'okusitula obusungu, bwe kuvaamu ennyombo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.