Proverbs 30:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tonsembereza bukuusa na bigambo bya bulimba; tompa bwavu yadde obugagga; mpa kyokka, emmere emmala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Naye ompenga emmere gye nneetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mponya ebikyamu n'obulimba, tompanga bwavu, wadde obugagga, naye ompenga ebyokulya bye neetaaga;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga: