Proverbs 30:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sikulwa nga mu kuyagaayagana nkwegaana; ne mpoza: “Ate Omukama ye ani?” Oba ate njavuwala, ne nziba, ne nvuma erinnya lya Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “ Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama y'ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nnemenga okukkuta ekiyitiridde, ne nkwegaana ng'aŋŋamba nti: “Mukama ye ani? Simwetaaga”; era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.