Proverbs 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi omuzira anaamusanga ye ani? Wa muwendo okukira amakula gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusingira wala amayinja ag'omuwendo ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani ayinza okuzuula omukazi ow'empisa ennungi? Omukazi oyo asinga wala amayinja ag'omuwendo ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.