Proverbs 31:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiki, mutabani? Kiki, mwana w'enda yange? Kiki, mwana w'obweyamo bwange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange, ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki, mwana wange? Era kiki, ayi mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ayi mwana w'obweyamo bwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayi mwana wange gwe nneezaalira, omwana wange ow'obulenzi, omwana gwe nawongera Mukama!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange?