Proverbs 31:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obw'omuzira teyeeraliikirira ba mu nnyumba ye, kubanga bonna ab'omu maka ge bambala ne baggumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera by’obutiti taba na kutya, kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde obunnyogovu tabutya, Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna abambaza ne babuguma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde ne bwe bunnyogoga, tabutya, kubanga ab'omu maka ge, abambaza ne babuguma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye; Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu.