Proverbs 31:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuganzi bulimbalimba, n'obubalagavu temuli nsa; omukazi atya Omukama yekka y'atendebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa; Naye omukazi atya Mukama y'anaatenderezebwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuba n'amaaso agasikiriza, kulimbalimba, n'obubalagavu tebugasa; naye omukazi assaamu Mukama ekitiibwa, ye agwanira okutenderezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa: Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.