Proverbs 31:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikigwanira bakabaka, ggwe Lemweli; si kya bakabaka okunywa omwenge; si kya bakungu okwagala ebitamiiza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe Lemweri, si kya bakabaka, si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegombanga omwenge,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si kwa bakabaka, ayi Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okunoonyanga ekitamiiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lamweli, wulira: tekigwanira bakabaka okunywanga omwenge, n'okululunkanira buli ekitamiiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa?