Proverbs 31:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sikulwa nga banywa ne beerabira etteeka kye liragira, ne bakyusakyusa ensonga z'abanaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne basaliriza abantu abanyigirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sikulwa nga bwe bagunywa, beerabira amateeka; era abanyigirizibwa, ne batabasalira mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa.