Proverbs 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira, mwana wange, kkiriza bye ŋŋamba, emyaka gy'obulamu gyeyongere obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; Olwo lw'oliwangaala emyaka emingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira mwana wange era okkirize bye ŋŋamba, lw'oliwangaala emyaka emingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi.