Proverbs 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze kukolawo kabi, babulwa otulo okutuusa nga waliwo gwe basudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola kabi. otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola bya ffujjo. Otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.