Proverbs 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekkubo ly'abatuukirivu liri ng'ekitangaala kya mmambya: kigenda kikanya okwaka okutuusa mu ttuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋaanga akasana k'enjuba evaayo, Akagenda keyongera okwaka okutuuka mu ttuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekkubo abalungi mwe bayita, lyaka ng'enjuba etandiikiriza okuvaayo, egenda nga yeeyongera okwaka okutuuka mu ttuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.