Proverbs 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Totaganga kudda ku ddyo oba ku kkono; ekigere kyo okiggyanga awali ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Tambuliranga mu bugolokofu, weewalenga okukola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewale ebibi, otambulire mu kkubo ettuufu. Towunjawunjanga kulivaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.