Proverbs 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saawuliriza ddoboozi ly'abayigisa bange, n'abanjigiriza saabategera matu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oligamba nti ssaawulirizanga bayigiriza bange, Sassangayo mwoyo ku bye banjigirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saawulirizanga bayigiriza bange, sassangayo mwoyo ku bye baŋŋamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!