Proverbs 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi ganywenga mu kidiba kyo, amazzi agakulukuta ag'omu luzzi lwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beeranga mwesigwa eri mukyala wo, Era gwewegattanga naye yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukazi wo ye ali ng'oluzzi olw'amazzi amayonjo. Nywanga amazzi ag'omu luzzi olulwo, amazzi agakulukuta, ag'omu luzzi olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.