Proverbs 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwana wange, lwaki wanditamidde omukazi malaaya, n'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omwenzi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki ggwe mwana wange, okusanyukiranga muk'omulala, n'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?