Proverbs 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga amakubo g'omuntu Omukama agatunuulira; yekkaanya obukubo bwe bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu byonna by'akola biri mu maaso ga Mukama, Era Mukama atunulira nnyo eŋŋendo ze zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama by'okola abiraba, era yeetegereza buli kkubo ly'okwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.