Proverbs 5:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyaliva afa, kubanga teyeefuganga; awabye olw'obusiru bwe obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alifa olw'obuteeziyiza, Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obutayiga bulimutta, aliwaba agwe mu ntaana, olw'obusiru bwe obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.