Proverbs 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sikulwa ng'ekitiibwa kyo okigabulira abalala, n'emyaka gyo n'ogiwa omukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, N'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, n'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.