Proverbs 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwana wange, bwe weeyimiriranga munno, obanga owaddeyo akakalu olw'omugwira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo, ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'omuteerawo akabega,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwana wange, bwe weeyimirira munno, n'omuteerawo akabega,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'okubira omugenyi mu ngalo,