Proverbs 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo obwavu bujja kukujjira ng'emmomboze, n'okuwamma, ng'omusabiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe butyo obwavu bulikujjira ng'omunyazi, N'ebyetaago byo bikuzinde ng'omutemu azze n'ebissi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ng'oli mu kubongoota, obwavu bulikwesibako, n'ebyetaago bikuzinde ggwe, ng'omutemu azze n'ebissi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.