Proverbs 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnantaganyula, omuntu omutali nsa, agenda ayita n'akamwa akoogera ebikyamu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja omubi, Atambula ng'abungeesa eŋŋambo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omubi entagasa, agenda abungeesa obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina akamwa akabambaavu;