Proverbs 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bya kukuwonya omukazi omugwenyufu, n'akamwa akagonvu ak'omukazi malaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okukuwonya omukazi ow’ebibi, okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukukuumanga eri omukazi omubi, N'eri ebigambo ebisikiriza eby'omukazi omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obikuumanga, olyoke owonenga omukazi ow'empisa embi, n'akalimi ka muk'omusajja akasikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi.