Proverbs 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno, mwana wange, okolanga oti okwewonya, anti kati oli mu buyinza bwa munno: Genda, yanguwako, omupeekereze ekisonyiwo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya, kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo: Yanguwa, ogende weetoowaze, weegayirire muliraanwa wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze weetayirire muliraanwa wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mwana wange, kola kino weewonye, kubanga oli mu buyinza bwa mulala: genda gy'ali weetoowaze, omwegayirire akuddiremu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo.