Proverbs 6:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'akwatibwa, agatta mirundi musanvu, na byonna by'alina awaka n'abiwaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu; ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe bamukwata aliwa emirundi musanvu. Awaayo ebintu byonna ebyo mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe baba bamukutte, aliwa emirundi musanvu, awaayo buli ky'alina mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye.