Proverbs 6:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talikkiriza kuliyirirwa; enguzi ne bw'eriba nnene etya, talikkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Talikkiriza mutango gwonna, wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Talikkiriza kiweebwayo kyonna okwenunula. So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Talibaako ky'akkiriza nti okiwaayo weenunule. N'ebirabo byo ebingi, tebirimunyiigulula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna; So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.