Proverbs 7:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tokkiriza mutima gwo kuwunjukira mu makubo ge; oba okuwabira mu bukubo bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye; temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokkirizanga mukazi ng'oyo kuwugula mutima gwo, n'ogoberera enkola ye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.