Proverbs 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bangi b'akwasizza n'abatta; oyo b'asse, bbiina ddene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bangi bazikiridde, ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Abafiiridde ewuwe tobabala n'obamalayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abasajja yazikiriza bangi. Abaafumitibwa ne bafa, abo tobabala n'omalayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene.