Proverbs 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti amagezi ga muwendo okukira amakula gonna; tewali kye weegomba kya muwendo kigenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi, era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amagezi gasinga amayinja ag'omuwendo, Tewali na kintu kyegombebwa ky'oyinza okugeraageranya nago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga amagezi gasinga nnyo amayinja ag'omuwendo. Tewali na kye weegomba ekyo, ky'oyinza kugeraageranya nago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.