Proverbs 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya Omukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa okwekuza, olunkulu, empisa embi n'akamwa akabambaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala n’okwemanya, n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Nkyawa amalala n'okwepanka, N'okwogera eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutya Mukama, kwe kukyawa ebibi. Nkyawa okwekuza n'okwepanka, n'empisa embi, n'eby'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa.