Proverbs 8:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ansubwa alyekolera bubi; bonna abankyawa baagala kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo atannoonya yeerumya yekka, era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo alemwa okunzuula, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba baagala kufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oyo akola ekibi n'annyiiza, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba booya kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa.