Proverbs 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulirize, kubanga bye ŋŋenda okwogerako bikulu; nzija kwasamya akamwa, njogere ebituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire, kubanga njogera ebigambo ebirungi ennyo. Byonna bye njogera bya nsonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire bye njogera ebirungi ebiyitirivu. Byonna bye mbabuulira nze, bituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga.