Proverbs 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera nze, ennaku zo ziryeyongera obungi, n'emyaka giryongerwa ku bulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwako, N'emyaka egy'obulamu bwo girisukkirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuba n'amagezi kyongera ku bungi bw'emyaka omuntu gy'awangaala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa.