Proverbs 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabuwe, tebamanyi nti eyo eriyo mizimu, nti abagenyi be bali ku ntobo y'emagombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tamanyi ng'abafu bali eyo, Nga n'abagenyi be, bali magombe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abo b'agamba tebamanyi ng'abayingira omumwe, bafiiramu; nga n'abagenyi be, bali magombe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe.