Psalms 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula essanyu lye limuli mu tteeka lya Mukama; yeebuulirira ku tteeka lye emisana n'ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa, Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula amateeka ga Katonda ge gamusanyusa, era g'alowoozaako emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.