Psalms 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ali ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'emyala egy'amazzi, ogussaako ebibala byagwo mu budde bwagwo, n'ebikoola byagwo ebitawotookerera; buli ky'akola kigenda bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaagwo. Amalagala gaagwo tegawotoka, Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo z'amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyabyo, era ogutawotoka makoola. Mu buli ky'akola aba wa mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.